Ggwangamujje NY/NJ
Apply For Membership | Member Login | Glossary | Contact Us | Help   
Luganda Cultural School - Luganda
Luganda Cultural School
English Version

Essomero eryatongozebwa nga Sseb'aseka 10, 2000, lyaggulwawo n'abaana 15 ab'emyaka 2 okutuuka ku 20 ku lw'Omukaaaga Bitungotungo 7, 2000.

Ebigendererwa

  • Kugunjula baana mu bulombolombo n'empisa z'Abaganda
  • Kuzimbira baana lutindo wakati wa gyebakulira - Amerika, n'obujjajjaabwe - Buganda, nga:
      tubasomesa Oluganda,
      tubayigiriza ebyafaayo bya Uganda, Buganda, obwa Kabaka bwa Buganda awamu n'ebika by'Abagada,
      tubamanyisa enkolagana ya Buganda n'amawanga amalala mu Uganda,
      tubakuutira obuteerabiranga bujjajjaabwe.
  • Kuyamba baana kwemanya na kukula nga bannansi ab'omugaso.
  • Kuzimbira baana musingi nga:
      tubayamba okumanyagana,
      tubayigiriza okuyambagana n'okukolera awamu,
      tubakuutira okweyamba bokka na bokka nga tebalindirira bya bwereere,
      tubayigiriza okuyambanga abali mu bwetaavu.

Enzirukanya

Essomero eriggulwawo buli lwa Mukaaga, lirina Omukulu, Omuwandiisi awamu n'Omuwanika. Balondebwa buli myaka ebiri. Mu kuliddukanya, bayambibwako abazadde n'abayizi. Omwaka, buli muyizi asasula ddoola nkaaga (US$60.00) ezigabanyizibwamu bwe ziti:
  • Okugula ebitabo, entambi (tapes), eby'okuyigisa ennyimba z'ekinnansi, enngoma, amadinda, ensaasi, n'ebirala...
  • Okubatwala mu bifo ebisanyukirwamu nga "amuzement parks", awakuumirwa ebisolo, mu mizannyo gya katemba, n'ebirala...
  • Okubakolera "picnic" y'omwaka.
  • Okutonerangako abali mu bwetaavu naddala bannaabwe mu Uganda.

Abaana bayiga ennyimba, emizannyo era bafuna eby'okukorera eka nga bakubirizibwa okwebuuzanga ku bazadde baabwe nga bafunye ebibakaluubiridde. Mu kuwummulamu wakati w'okuyiga, tulya nabo eky'eggulo era abaazaalibwa mu mweezi gwe tuba tukunngaaniddemu netukuliza wamu amazaalibwa gaabwe. Olusomo lukomekkerezebwa n'okuteesa okwetabamu abayizi n'abazadde.
Terms of Use | Privacy |  Sitemap   Designed by Infoma   
Home | About Us | Membership | Community | Programs | News | Buganda | Forums | Resources